City Oilers ewangudde liigi y'ensero omulundi ogwokutaano

By Musasi wa Bukedde

TTIIMU ya City Oilers yazzeemu okuwangula ekikopo kya National Basketball League (NBL) omulundi ogwokutaano ogwomuddiring'anwa ku Lwokutaano mu MTN Indoor Arena e Lugogo.

Rita1 350x210

Bya GERALD KIKULWE

City Oilers yawangudde KIU Titans enzannya  4 kw’ezo 7 ze baabadde balina okuzannya wabula oluvannyuma lwa KIU okulemererwa okwenunula ku luzannya olwokuna kyawadde batabani ba Mandela ekikopo ekyokutaano.

Mandy Juruni omutendesi wa City Oilers yagambye nti kino kye bakoze eky’okulemesa KIU Titans okuwangulayo  oluzannya lwonna kiraze nti eky’okubeera kyampiyoni kibagwanidde.

“Ttiimu ewangudde ebikopo 4 eby’omuddiringanwa,kyetaagisa n’okuba omuntu nga takutteemu wadde oluzannya era kye tukoze wabula obumanyirivu mu liigi,obumu bwa ttiimu n’okulaga ennyonta bituyambye okuwangula,”Mandy bwe yeewaanye.

Ku Fayinolo y’omwaka guno,City Oilers ewangudde (74-72),(76-72),(56-54) ne (68-60)

City Oilers mu 2017 yakubye KIU Titans Falcons ku Fayinolo,2016 yakuba Betway Powers,2015 yaggyamu UCU Canons,2014 n’ekuba Tiger Head Power ate 2013 yaggyamu Falcons.

Kino kati kitegeeza nti City Oilers ne KIU Titans baakukiikirira Uganda mu 2018 Men’s  Zone Five Championship eyakawangulwa City Oilers emirundi ebiri.