'Kante y'asobola Messi'

By Musasi wa Bukedde

NG'EBULA ssaawa mbale Chelsea eyambalagane ne Barcelona mu Champions League, eyaliko omuzannyi wa Chelsea, Frank Lampard asonze ku muzannyi anaalemesa Barcelona obuwanguzi.

Messi 350x210

Lampard agamba nti kasita Chelsea eneesobola okukuuma Lionel Messi, awo obuwanguzi ejja kuba emaze okubufuna.

"Teri kubuusabuusa Messi ye muzannyi asinga mu nsi yonna era ayagala okulemesa Barcelona asookera ku Messi," Lampard bwe yategeezezza n'agamba nti mu bazannyi abali mu Chelsea, Kante gw'alabamu obusobozi okumutangira.

"Messi amasukabumasusi era ne kakutanda n'akwesimattulako,oba owedde," Lampard bwe yayongeddeko n’akuutira Antonio Conte atendeka Chelsea okuwa Kante amagezi aganaazika Messi kuba ate abateeb ba Chelsea okuli Eden Hazard, bajja kuteeba ggoolo ezibawa wiini