Nyamityobora FC ewera mu za Big League

By Musasi wa Bukedde

" Tulina okuzannya Super League sizoni ejja"

Nyami 350x210

Bya GERALD KIKULWE

Egisambibwa  mu Big League (Lwakuna)

Kansai Plascon FC – Nyamityobora FC, Ntawo

Greater Masaka FC- Bumate UTD FC, Masaka

Ntinda UTD FC – Water FC, Kamwokya

Kireka UTD FC – Suncity FC,Namboole

Kira UTD FC – Simba FC,Namugongo

Ndejje Univ.FC – Bukedea TC FC, Luwero

Doves All Stars – Busia Fisheries, Arua

Lira UTD FC – Kyetume FC, Lira

Kataka FC – Kamuli Park FC, Bufumbo

Paidha Black Angel – Amuka Bright Stars, Zombo

Vura FC – Agape SS FC, Moyo

Synergye FC - Kabale Sharp FC,Kasasa

NYAMITYOBORA FC mu Big League erwana kwetakkuluza ku Kira United ne Kitara FC bwe babbinkanira entikko y’ekibinja kya Rwenzori n’okwesogga Liigi ya babinywera sizoni ejja.

Oluvannyuma lw’obuwanguzi bwa ggoolo 1-0 Nyamityobora bwe yafuna ku Kansai Plascon FC mu kitundu ekyasooka, leero (Lwakuna) mu gw’okuddingana baagala likodi yaabwe esooka sizoni eno okuwangulira ttiimu awaka ne ku bugenyi wansi w’omutendesi James Odoki.

 “ Obunkenke bukyali bungi wakati waffe, Kira ne Kitara wabula wano wennina okulagira obumanyirivu okufuna obubonero ku bugenyi n’awaka Nyamityobora okwesogga liigi ya babinywera,” Odoki bwe yagambye.

Omuwuwuttanyi Denis Kiiza akomyewo okuva mu buvune Odoki ne yeewaana nti kw’agenda okuzimbira okuwangula Plascon.

Nyamityobora ekyakulembedde ekibinja n’obubonero 32, Kira mu kyokubiri n’obubonero 31 ate ne Kitara 30 mu kyokusatu.