Abeemisinde bataka mu Algeria

By Teddy Nakanjakko

"Notisi abaddusi ze bafunye, zibamala okuva mu mpaka za Africa Cross Country n'emidaali egiwera."

Misinde3 350x210

OMUTENDESI wa ttiimu egenda okukiikirira Uganda mu misinde gya Afrika egya Cross Country ku Lwomukaaga mu Algiers ekya Algeria agumizza bannansi nti beetegefu okufufuggaza bannansi ba Ethiopia ne Bannakenya mu mpaka zino.


Benjamin Njia yagambye nti; "Abaddusi bamaze ennaku bbiri e Kapchorwa nga  batendekebwa mu misinde gy'akafubutuko egigenda okubayamba ku sipiidi." Ttiimu yasitudde ku Lwakusatu ng'emisinde gitandika ku Lwamukaaga.

 

Omu ku baddusi abaagenze kuliko Stella Chesanga.