Aba ddigi beesunze ez'e Busiika

By Nicholas Kalyango

Uganda yaakuyingira empaka zino ng’eyagala kweddiza ngule ya mpaka zino omulundi ogwokuna ogw’omuddiring’ana.

Ddigi 350x210

ABANYUMIRWA ddigi baakuzoota buliro nga April 1 e Busiika mu mpaka ezeetabwamu ensi ez’obuvanjuba bw’Afrika. Uganda yaakuyingira empaka zino ng’eyagala kweddiza ngule ya mpaka zino omulundi ogwokuna ogw’omuddiring’ana.
 
Uganda yaakagiwangula emirundi esatu egisembyeyo mu 2015, 2016 ne 2017. Abamu ku bavuzi abali ku ttiimu ya Uganda okuli; Arthur Blick, Olivier Van Pee ne Miguel Katende batandise okutendekebwa era bawera nga bwe bagenda okuliisa abavuzi b’ensi endala enfuufu.
 
Wano pulezidenti w’ekibiina ekitwala ddigi n’emmotoka z’empaka mu Uganda, Dusman Okee w’akungudde abazadde okuyambako bannabyamizannyo mu kutambuliza awamu emisomo n’ebyemizannyo.
 
Abyogedde mu kuzitongoza leero (Lwakusatu) e Busiika. Empaka zino zaakulagibwa layivu ku Urban TV eri wansi wa Vision Group efulumya ne Bukedde.