Umukuka asiimye okuggulawo eza Umea

By Musasi wa Bukedde

Umukuka asiimye okuggulawo eza Umea

Lop2 350x210

Bya Gerald Kikulwe

UMUKUKA ENZU wa Bugishu Bob Mushokori attenderezza omutindo gw’essomero lya Kasawo SS gwe lirinnyisa buli mwaka mu by’emizannyo ekitaddewo ettutumu mu empaka z’emizannyo gya UMEA.

Umukuka yabadde aggulawo empaka z’amassomero agali ku musingi gw’obusiraamu 2018 Uganda Muslim Education Association (UMEA) tournament, abalina ekikopo kino aba Kasawo SS mwe lyawuttulidde Kinawa High ggoolo 9-1 mu mupiira ogwa gguddewo ku lwokutaano mu kisaawe Mbale Municipal Stadium.

Empka zino omuli emizannyo egy’enjawulo nga Football (abawala n’abalenzi), Netball, volleyball, Table Tennis,Badminton n’emirala zeetabiddwaamu amasomero 41 nga zaakuyinda okuva ku lwomukaaga March, 30 – April 2 ku Ssomero lya Nkoma SS e Mbale.

“Eby’emizannyo kye kimu ku birungo ebiwagala abayizi okukola obulungi mu by’ensoma,Kasawo omutindo gw’etaddewo musuffu era singa kibeera kityo ttiimu y’eggwanga yaakufuna ebitone bingi,” Umukuka Enzu ya Bamasaaba bwe yakaatirizza.
Valentino Opendi yateebedde Kasawo ggoolo 6, Angello Tabu ne Hassan
Muhammed neteeba endala ate Marvin Ekonde nateebera Kinawa High.