Nkumba yeepikira Busitema mu liigi ya yunivasite

By Musasi wa Bukedde

“sizoni ewedde, twanyoomanga ttiimu ezimu era y’ensonga lwaki Uganda Martyrs Universite yatukubira ku Semi naye ku luno, tugenda kubalaga omuliro."

Nkumbasizonieweddengabafunaemiddaalikyokumaliramukyokusatu 350x210

Mu liigi ya yunivasite

Busitema Univ- Nkumba Univ,Busitema(Lwakusatu)
UCU – Gulu Univ eMukono (Lwakuna)
Bugema Univ – Kumi Univ e Bugema (Lwakutaano)
IUIU-KIU e Mbale (Lwamukaaga)
Kyambogo Univ- MUST e Kyambogo (Ssande)

LEERO (Lwakusatu) Nkumba University lw’eggulawo sizoni yaayo mu liigi ng’ekyalidde Busitema University . Omutendesi Patrick Ssebuliba agamba tagenda kunyooma ttiimu yonna sizoni eno kuba sizoni ewedde yazannya Nkozi University nga tagitidde n’emukubira ku Semi.


“Sizoni ewedde, twanyoomanga ttiimu ezimu era y’ensonga lwaki Uganda Martyrs Universite yatukubira ku Semi era nzikiriza ffe twagiwa n’ekikopo kuba kyali kirina kuba kyaffe wabula ku luno tugenda kwetegeka nnyo buli ttiimu gye tusanga,” Ssebuliba bwe yagambye.


Bya GERALD KIKULWE