LwakatakaLwakataka awangudde ne yeggyako ekikwa kya myaka 4Yeggyeeko 4!

By Nicholas Kalyango

OLUVANNYUMA lw’emyaka ena ngatalaba ku buwanguzi mu mmotoka za mpaka, Munnamasaka Ponsiano Lwakataka asitukidde mu za ‘SMC Masaka Rally’.

Mafumafu 350x210

  1. Lwakataka / Mugisha 1:23:13
  2. Mubiru / Nsubuga 1:24:56
  3. Bakunda / Kakande 1:25:46
  4. Ssebuguzi / Ssenyange 1:26:51
  5. Super Lady / Kyeyune 1:28:46  

Lwakataka yamazeeko olunaku lw’empaka zino olwasoose (Lwamukaaga) ng’ali mu kifo kya 33 era Jas Mangat, eyabadde akulembedde ng’amusinga obutikitiki 45 wabula we baamalidde olukontana olwokubiri eggulo (Ssande) ng’anunudde obudde obwabadde bumusingibwa.

Oluvannyuma lw’okuwangula, Lwakataka yategeezezza nga bw’amaze ebbanga nga yeesunga okumegga bavuzi banne.

“Bulijjo mmotoka ensumbuwa naye nga mbeewulira. Bavuga mmotoka nzungu naye eyange hhanda era mbasuubiza nkyabakuba kuba eno emanyi amakubo ga wano.”

MANGAT ZIMWEGAANYI

Nnantameggwa wa 2012, 2013 ne 2017, Jas Mangat yayingidde empaka zino nga yeetaaga buwanguzi akulembere engule y’omwaka guno n’obubonero 300 wabula wadde yawangudde olunaku olusooka, mu lwokubiri teyafulumye lukontana (section) lwa ku makya oluvannyuma lwa mmotoka ye okufa.

SSEBUGUZI AMAZEEKO

Zino z’empaka Ronald Ssebuguzi zasoose okumalako omwaka guno. Empaka ezemirundi ebiri ezaasooka teyazimalaako oluvannyuma lwa mmotoka ye okufa.

Ez’e Masaka, yamalidde mu kyakuna emabega wa Unissan Bakunda) ate Duncan Mubiru ‘Kikankane’ yakutte kyakubiri.

Ssebuguzi yagambye nti kati atunuulidde kumalako mpaka ziddako ku kalenda asobole okufunza obubonero ku ngule y’omwaka guno.