Kira United egobye omutensedi waayo

By Musasi wa Bukedde

TTIIMU ya Kira United FC essuubi ly’okuzannya mu Liigi ya babinywera sizoni ejja oluweddewo neegoba omutendesi Mark Twinamasiko olw’omutindo ogw’ekiboggwe gw’ayolesezza.

Bada 350x210

Bya GERALD KIKULWE

Egisambibwa mu Big League(Lwakuna)

Ndejje Univ. FC – Paida B.A FC,Luwero

Water FC – Synergy FC, Kyambogo

Simba FC – G.Masaka FC,Kabanyoro

TTIIMU ya Kira United FC essuubi ly’okuzannya mu Liigi ya babinywera sizoni ejja oluweddewo neegoba omutendesi Mark Twinamasiko olw’omutindo ogw’ekiboggwe gw’ayolesezza.

Nga ttiimu za Big League zisigazza omupiira gumu gumu okuwunzika ebibinja bya sizoni eno,Kira United ebadde yeekuumidde mu kifo ekyokubiri okuva sizoni lwe yatandika emikisa ggyaayo okumalira mu bifo bya “Playoffs” gyazze mu ssaala oluvannyuma lw’okukubwa Kansai Plascon FC ggoolo 3-0 ku lwokubiri olwo n’edda mu kifo eky’okuna ekyatabudde ennyo Maneja wa ttiimu Edward Nsimbi n’akwata omutendesi ku nkoona.

“Nkoze buli ekisoboka okuwa omutendesi ebyetaagisa okulaba nga ttiimu waakiri ezannya “Play offs” nga bwe kyali sizoni ewedde naye angiyeeyo,”Nsimbi bwe yacwanye.

Yagasseeko nga bw’amaze ebbanga ng’amulabula ku ngeri gy’abadde akolamu ebintu naddala okutuuka ekikeerezi mu budde bw’okutendeka abazannyi ng’oluusi asanga omumyuka w’omutendesi amalirizza okutendeka abazannyi, wabula teyacuusaamu.

 Kira United eri mu kifo 4 mu kibinja kya Rwenzori n’obubonero 37 ng’esabirira Bumate FC abali mu kyokusatu n’obubonero 39 bakubwe mu gusembayo ku Ssande ate bbo bawangule Ntinda United FC okuzannya “Play offs”.