Proline esannyalazza emikisa gya Villa okuwangula liigi

By Silvano Kibuuka

Abawagizi ba SC Villa bavudde e Lugogo nga bamatidde nga bwe bavudde ku kikopo ne bwe wanaabaawo ebibalo byonna mu kwongera okufuna obubonero bwa liigi nga ttiimu endala zizannye oluvanyuma lw’okulemegana ne Proline FC gye bakyalidde nga tewali ateebye munne.

Prolinedrawvillabukeddeweb3 350x210

Liigi ya Azam:

Proline FC 0 – 0 SC Villa

Okulemagana kulese SC Villa mu kyokusatu ku mipiira 29 so nga Proline ekyali mu kya 15 n’obubonero 28 mu mupiira 29 era ng’eyolekedde okusalwako.

Omutendesi wa Proline, Mujib Kasule ategeezezza nti abadde n’abasambi mukaaga Abasiraamu abaalemedde ku ky’okusiiba ne kikaluubiriza ttiimu okuwangula kubanga bazannye tebalina maanyi gamala.

“Kino kiwalirizza abasambi abalala obutakola bulingi kubanga bannabwe babadde njala nga tebalina maanyi. Singa banaagaana okulya ku mupiira oguddako nga tusamba URA era e Lugogo tetujja kubawa mupiira ogwo,” Mujib bw’ategeezezza.

Abawagizi balabidde awo ng’omukwasi wa ggoolo ya Proline, Said Keny yeesiba ekyenda ddiifiri n’ayimiriza omupiira okukala eddakiika ttaano Proline n’eyingiza omulala Nasser Lwamunda agumazeeko.

Ye omutendesi wa SC Villa Wasswa Bbosa ategeezezza nti liigi agivuddeko nga bati essira alitadde ku mpaka za Uganda Cup mw’asisinkanira Express FC ku Lwomukaaga.