Cranes etandise okutendekebwa

By Stephen Mayamba

ABAZANNYI ba Cranes abaguzannyira ensimbi batandise okutendekebwa nga beetegekera okugenda mu nkambi gye bagenda okukuba mu ggwanga lya Niger bazannye n'egyokwegezaamu ebiri.

Img20180522wa0157 350x210

Abawuwutannyi; Hassan Wasswa, Khalid Aucho ne Allan Kateregga beegatiddwaako abazibizi; Isaac Muleme ne Murushid Jjuuko wamu n'omukwasi wa ggoolo Salim Jamal mu kutendekebwa okumaze essaawa nnamba e Lugogo ku Star Times stadium.
 
Cranes esitula ku Lwamukaaga nga May 26, okugenda e Niger gy'egenda okwegezaamu ne bannyinimu aba Niger wamu ne Central African Republic.