Abachina bawangudde empaka z'amaato

By Musasi wa Bukedde

ABAYIZI ba Yunivasite ya Jianghan okuva e China baalaze obwakafulu mu kubonga amaato ag’enkasi ekika kya ‘Dragon Boat’ bwe baawangudde Bannayuganda mu mpaka ezaanyumidde abalabi e Ntebe wiikendi ewedde.

Tonya 350x210

Abawanguzi;

1.Fast Forwarder’s 1:06.73

2. Jinja One Beach 1:08.40

3. Entebe B 1:11.06

Abachina Abagenyi;

Jianghan University 1:02.77

Zaabadde ku lubalama lwa Uganda Wildlife Education Center (UWEC) ekya Entebbe Zoo bwe baaziwangudde nga mmita 250 baazivugidde eddakiika 1:02.77.

Zino ze zimu ku mpaka z’amaato ezivuganyizibwako mu mizannyo gya Olympics ne Commonwealth naye nga Uganda ebadde teyeetabaamu olw'ebbula ly'obukugu n'amaato ag’omulembe.

Omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi y’omu ku baanyumiddwa empaka zino ezirina omulamwa gw’okuggumiza enkolagana wakati wa Uganda ne China nga zino zaabadde za mulundi gwakubiri.

Ttiimu za Uganda 10 ze zaavuganyizza n’ez'Abachina 13 okuli emu eyavudde ebweru era eyawangudde mu bakafulu.

Mu za kuno, Fast Forwaders, ekulirwa Omuchina Jane Zhang ye yanywedde mu zinnaazo akendo mu kusindana okwa mita 250 bwe yavugidde eddakiika 1:06.73 ne bakwasibwa pikipiki ya bodaboda.

Baddiriddwa Jinja One Beach (1:08.40) ate Entebbe ‘B’ n’ekwata kyakusatu (1:11.06) zombi ne zifuna ffiriigi ne magetesi, ebyaweereddwaayo kkampuni z’Abachina mu Uganda.

Minisita w’ebyobulambuzi, Godfrey Suubi Kiwanda eyakwasizza abawanguzi ebirabo yategeezezza nti baakuzongeramu ebirungo ate omuwandiisi wa Uganda Dragon Boat Federation, Deo Lukyamuzi n’ategeeza nti okuva lwe baafunye amaato 10 agaleeteddwa Abachina, omuzannyo gugenda kwongera okutinta