Eng'onge eri ku Ngabo

By Musasi wa Bukedde

BAZZUKULU ba Nakigoye Abekinyomo, baakamudde aba Kisoro (Abehhonge), entuuyo mu mpaka z'emipiira gy’Ebika by'Abaganda e Wankulukuku.

Twala 350x210

Egyazannyiddwa mu gy'Ebika

Kinyomo 1(2) -1(4)

Ngonge Nvuma 3-0 Engabi Ennyunga

BAZZUKULU ba Nakigoye Abekinyomo, baakamudde aba Kisoro (Abehhonge), entuuyo mu mpaka z'emipiira gy’Ebika by'Abaganda e Wankulukuku.

Abazannyi b'ehhonge abaakulembeddwaamu Francis Jjemba, eyaliko ssita wa Express, ne Godfrey Ssembatya (URA), baayingide ekisaawe nga bawera okufutiza banaabwe babakube ebisero bya ggoolo, kyokka ebintu byabatabuseeko, Martin Kimuli (Kinyomo), bwe yakedde okubasonseka ggoolo.

Embeera eno yatadde Andy Lule ne Twaibu Ssemwanga (abatendesi b'Ehhonge), ku bunkenke ne batandika okuwa abazannyi baabwe ebiragiro eby’okumukumu.

Bano bakira banenya abazannyi baabwe olw’okwesaasira, ne babalagira okwongera okukola ennyo bawone okuswala mu maaso g’abawagizi baabwe.

Ebigambo by’abatendesi bino kirabika byayambye okuzuukusa abazannyi abaatandise okukola ennumba ez'okumukumu, okukkakkana nga bafunye ggoolo ey'enkyenkanyi mu kitundu ekisooka.

Omupiira gwakomekkerezeddwa (1-1), Eng'onge n'eyitawo ku (4-2) eza peneti.

Enkya, empaka zigenda kuwummulamu, olwo ku Lwokuna oluzannya lwa ttiimu 16 lutandike.

Emipiira gyonna gizannyirwa Wankulukuku. Aboobutiko be baggulawo n'Envuma, eyawangudde En