UCU erwanira Women's Cup

By Musasi wa Bukedde

UCU Lady Cardinals erina omukisa okuzza ku nsimbi ze yasaasaanya okukansa bassita ba ttiimu y’eggwanga abasatu, singa ewangula empaka za FUFA Women’s Cup ku Lwomukaaga luno.

Bika 350x210

FUFA Women's Cup 2018, fayinolo Lwamukaaga, e Bushenyi

UCU Lady Cardinals – She Corporates

Ku ntandikwa ya sizoni, ttiimu eno eya yunivasite ya UCU e Mukono, yakansa Hasifa Nassuuna, kapiteeni wa Crested Cranes, Yudaya Nakayenze n’omukwasi wa ggoolo Ruth Aturo, abaali bassita ba Kawempe Muslim, bakyampiyoni ba liigi y’eggwanga eya FUFA Women’s Elite League emyaka ena egiyise n’ekigendererwa ky’okuwangulayo ku kikopo wabula ne balemererwa okugituusa mu kakungunta ka semi ‘play-offs’ omuva omuwanguzi.

UCU Lady Cardinals yakubye Olila Women FC okuva e Soroti (2-1) ku semi, ezaateebeddwa Munnakenya Moureen Kinavoudori ne beesogga fayinolo kwe bagenda okuttunkira ne She Corporates e Kabwohe mu Bushenyi ku Lwomukaaga.

Olila be babadde n’ekikopo kino kye baawangula omwaka oguwedde lwe kyasooka okutegekebwa wabula ng’okukuba Gafford fayinolo basooka kuggyamu UCU ku semi.

Yo She Corporates yaggyeemu Muteesa Royals ku (5-4), eza peneti, oluvannyuma lw’okulemagana (1-1) mu ddakika 90.