Omar Mayanja alaalise okuliisa bavuzi banne enfuufu

By Nicholas Kalyango

NNANTAMEGWA wa 2015 mu mmotoka z’empaka (2015) ne ddigi, Arthur Blick Jr, waakufuna ekigezo eky’enjawulo leero (Ssande) mu mpaka za ‘Moutain Drew MX4, CRC & 2WD FMU Garuga Sprint’.

Wano 350x210

Mukoddomi we, Omar Mayanja amusonzeemu ng’omu ku bazze okuliisa enfuufu mu mpaka zino.

Mayanja agamba nti, “Blick wadde yafunye emmotoka ey’amaanyi ekika kya Mitsubishi Evo 10, ate nga nnalabye obutambi bwe ng’atambula bulungi mu kwegezzaamu, akimanye nange obuwanguzi mbwagala.

Empaka zino njagala kuzikozesa okwetegekera eza Pearl of Africa.” Blick, mukoddomi wa Mayanja era ye yamuwa omukyala Leira Mayanja.

Leero agenda kuvuganya mu mizannyo ebiri, nga waakusooka mu ddigi nga tannajja kuvuganya na mukoddomi we mu mmotoka.

“Eky’okubeera nti ng’enda kuvuganya mu mizannyo gyombi, tekigenda kunkosa. Ndi mwetegefu okuliisa aba ddigi n’emmotoka enfuufu era buli asuubira obuwanguzi abwerabire kuba emmotoka nagimanyidde ate nga ne mu ddigi nnekakasa kye nkola,” Blick bwe yagambye.

Abavuzi ba ddigi 45 n’aba mmotoka 35 be bakakasizza okwetaba mu mpaka zino.