Vipers eyagala buwanguzi ereme kuva mu CECAFA

By Musasi wa Bukedde

OMUKISA gwa Vipers okusigala mu kikopo kya CECAFA, gusigadde gumu gwokka gwa kuwangula Kator FC eya South Sudan olwaleero.

Vipers1 350x210

Vipers - Kator FC, ssaawa 11:00

Vipers bw’eba yaakugenda ku ‘quarter’, erina okuwangula mupiira guno okuva ebiri egyasooka, bwe yaggyamu obubonero bubiri bwokka.

Yalemagana ne Azam wamu ne JKU eya Zanzibar gyombi (1-1).

Obuwanguzi ku Kator FC eya South Sudan, bwakutwala Vipers ku bubonero butaano obugiyamba okuva mu kibinja ekikulembeddwa Azam ey’e Tanzania n’obubonero 7.

Omutendesi wa Vipers, Miguel Da Costa yategeezezza nti emipiira egyasoose abazannyi be baabadde tebannakwatagana bulungi wabula ku gwa leero asuubira okuyungula ttiimu kabiriiti egenda okumuwa obuwanguzi.

“Nsuubira okukola enkyukakyuka eziwerako kuba emipiira egyasoose twazannyisa abazannyi abatalaga nnyo bwagazi.

Twetaaga okutuuka ku ‘quarter’ kuba tulina abazannyi abalungi,” Miguel bwe yategeezezza.

Vipers eyimiridde ku muteebi Dan ‘Muzeeyi’ Sserunkuuma, Tadeo Lwanga, Yayo Lutimba ne Milton Karisa ab’obumanyirivu.

Mu 2011, Vipers lwe yasooka okwetaba mu mpaka zino, teyava mu kibinja ng’omulundi guno balina okwerwanako okuva mu kibinja.

Vipers, teyagenda na bazannyi okuli; Ismail Watenga, James Alitho, Harid Lwaliwa, Erisa Sekisambu, Tony Odur, Deus Bukenya, Tom Masiko ne Moses Waiswa.