Eza ‘Pearl’ ziyiiseemu kavvu

By Musasi wa Bukedde

NG’EKIBIINA ekiddukanya omuzannyo gwa mmotoka z’empaka mu ggwanga (FMU) kikyalwana okulaba ng’eza ‘Pearl of Africa Rally’ ziddamu okubeera n’ettutumu ng’edda, kkampuni ya Shell VPower ebakubye enkata ya bukadde 110.

Dteqjgkwaaa1v7k 350x210

Ssente zino zaakuyamba FMU okutegeka empaka z’omwaka guno ezituukana n’omutindo gw’ensi yonna.

Emirundi egiyise, abavuzi abagwira babaddenga beemulugunya nti empaka zino tezibeera ku mutindo.

Ez’omwaka guno, zaakubeera Kayunga nga July 21. Abavuzi baakuvuganya ku buwanvu bwa kiromita 211.72 okumala ennaku bbiri mu nkontana (section) 10.

Munnakenya Manvir Baryan ye yawangula ez’omwaka oguwedde.