Semata aggye Mugula ku nsambaggere

By Musasi wa Bukedde

“Sigenda kulinda kufiira mu miguwa, eby’ensambaggere mbivuddemu," bwatyo Ronald Mugula omuzannyi w'ensambaggere bwe yatandise ng’ayogera ku ky’okunnyuka omuzannyo guno gw'amazeemu emyaka 14.

Mugu 350x210

Yagambye nti agenda kukola gwa butendesi. Mugula, abadde abeera mu Girimaani, yasangiddwa ku ggiimu esangibwa e Ggangu ku luguudo lw'e Busaabala ng’atendeka abavubuka.

Bwe yabuuziddwa ensonga emuviiriddeko okunnyuka omuzannyo guno ku myaka 35 gyokka, yazzeemu nti yayisibwa bubi mu lulwana olusembyeyo ne Umar Semata, era nti bwe yaddayo e Girimaani, abakugu ne bamuwa amagezi awummule.

" Omuzannyo ngufunyeemu ebyobuggaga wano ne Girimaani, naya kinkoze bubi okunnyuka nga sinneesasuza Semata ne Moses Golola abaanziba mu nnwaana ez'enjawulo," Mugula bwe yategeezezza.

Yeetabye mu nnwaana 78, kw'awangudde 51, ne bamukuba 23, n'amaliri ga mirundi ena.