Uganda eyungudde abaddusi 12

By Ester Naluswata

Mu baddusi Uganda b’eyungudde mulimu Peruth Chemutai, eyabadde e Finland mu mpaka z'abali wansi w'emyaka 20 n’awangula omudaali gwa feeza.

Nanyondo2 350x210

UGANDA, eyungudde abaddusi 17 okuwangula emidaali mu mpaka z’emisinde eza Afrika eziggyibwako akawuuwo ku Lwokusatu lwa wiiki ejja.

Empaka zino eza 'African Senior Athletics Championships', zigenda kuyindira mu kibuga Asaba e Nigeria mu Stephen Keshi Stadium okutandika nga August 1 ziggwe nga August 5 ng’abaddusi battunka mu mmita ez’enjawulo.

Mu baddusi Uganda b’eyungudde mulimu;  Ne Peruth Chemutai, eyabadde e  Finland mu mpaka z'abali wansi w'emyaka 20 n’awangula omudaali gwa feeza mu mmita 3000 ez’okudduka  ng’obuuka obusenge era waakuddamu okulwanirira omudaali mu mpaka z’e Nigeria. 

Abalala abagenda; Abakazi: Scovia Ikoru, Leni Shida, Stella Chesang, Mercy Chelangat, Winnie Nanyondo, Halima Nakayi ne Josephine Lalam

Abasajja:
Abel Lucy, Timothy Toroitich, Ronald Musagala, Geoffrey Luto, Rashid Ethiau, Leonard Opiny, Stephen Kisa, Kevin Kiber ne Pius Adome.

Omu ku bakungu mu kibiina ekivunaanyzibwa ku misinde mu ggwanga ekya Uganda Athletics Federation (UAF), Timothy Masaba agamba nti abaddusi baakusimbudde ku Lwokutaano okwolekera Nigeria batuukeyo mu budde basobole okumanyira embeera yaayo.