Kiplimo asubiddwa empaka z'Afrika lwa buvune

By Ester Naluswata

Empaka za Afrika zitandika Lwakusatu mu kibuga Asaba era Uganda yabadde eyungudde abaddusi 19 wabula kati baasigadde 17.

Kiplimo 350x210

JACOB Kiplimo, eyawangulidde Uganda omudaali gwa feeza mu mpaka z'abato ez'abali wansi w'emyaka 20  ezaabadde e Finland omwezi guno, asubiddwa okwetaba mu za Afrika ezigenda okuyindira e Nigeria.

Empaka  zino zitandika Lwakusatu mu kibuga Asaba era Uganda yabadde eyungudde abaddusi 19 wabula kati basigadde 17.

Kiplimo, nga yawangula n'omudaali gwa zaabu mu mpaka za World Cross Country Championship ezaali e Kololo Uganda omwaka oguwedde e Finland, yavuddeyo alwadde. Waakwegattibwako Albert Kibet naye eyafunye obukosefukosefu.

Ttiimu ya Uganda esimbudde leero ku Lwokutaano okwolekera Nigeria. Omutendesi wa ttiimu eno, Moses Asonya mugumu nti abaddusi b’asigazizza balina obusobozi okuva e Nigeria n'emidaali. "Abaddusi nnina bangi abalina obumanyirivu era bazze beetaba mu mpaka ez'emaanyi era nsuubira bajja kuwangula emidaali," Asonya bwe yategeezezza.