Ab'ebikonde beetegekera mpaka za East African Games

By Silvano Kibuuka

Abakubi b’ebikonde mu ttiimu y’eggwanga bali mu nkambi e Lugogo okwetegekera eby’amawanga g’obuvanjuba bwa Africa egya East African Games egisookedde ddala nga gyakubumbujjira mu kibuga Bujumbura ekya Burundi okuva nga August16.

Bombestrainjuly30bukeddeweb2 350x210

Abakiiko akavunanyizibwa ku mizannyo aka NCS ke kaalagidde ab’ekibiina kya UBF okutegeka ttiimu y’abazannyi 11 abasajja n’eyabakazi abagenda okuvuganya mu mizannyo gino. 

Ttiimu erimu abazannyi abasajja 18 n’abakazi 8 y’eri mu nkambi okwetegekera era ng’omutendesi Zebra Senyange ategeezezza nti bali mu kuwa bazannyi bukodyo okuwangula emidaali mu mizannyo gino. 

Abatendesi abalala abali mu nkambi ye Sam Kabugo, Lawrence Kalyango ne Lamson Lakony nga bali ku basajja ate abakazi babangulwa Mercy Mukankusi.

“Tujja kubasunsula ekiseera kyonna. Tukyabawa bukodyo bonna awamu kubanga n’abatajja kugenda bajja kufunamu,” Senyange bw’ategeezezza.  Ttiimu etendekebwa enkya n’eggulo.