KIU ekubye City Oilers n'ewaga

By Musasi wa Bukedde

OMUTENDESI wa KIU Titans Brian Wathum oluwangudde City Oilers awaka ne ku bugenyi sizoni eno mu liigi ya Basketball n’awaga nga bw’ali ku kikopo.

Kiunecityoilersngabattunka3 350x210

Bya GERALD KIKULWE

KIU Titans 94-79 City Oilers

JKL Dolphins 65-68 Betway Power

KIU ebadde emaze sizoni ssatu ez’omuddiring’anwa nga tefuna buwanguzi wadde omulundi ogumu ku City Oilers nga ne sizoni ewedde baakubirwa ku fayinolo enzannya 4-0 wabula sizoni eno bazze bamazeeko bwe baawangudde Oilers obugoba 72-57 mu nsiike eyasooka ate ne ku Lwokutaano baabazze mu biwundu ku bugoba 94-79 ekyawadde omutendesi essuubi.

“ Tumaze ebbanga nga twetamiddwa ejjoogo lya City Oilers gye tuli, naye kino kitegeeza nti tuli ku kikopo oluvannyuma lw’okukuba Kyampiyoni era tetugenda kudda mabega,” Brian Wathum atendeka KIU Titans bwe yategeezezza.

Micheal Bwanga owa KIU ye yasinga okukola obubonero obungi (19 ne Libbaawundi  9) mu nsiike eyasooka era ne ku luno yafuukidde City Oilers ekyambika bwe yasukkulumye n’obubonero  20.

KIU esigazza ensiike ya mulundi gumu ne Ndejje Angels okuwunzika enzannya z’ekibinja sizoni eno.