Express FC eremaganye ne Azam FC eya Tanzania Kisala n'awaga

By Stephen Mayamba

KEFA Kisala agenda Express FC amatidde omutindo gw'abazannyi be gwe bayoleseza nga balemagana ne Azam FC eya Tanzania nagumya abawagizi nti ttiimu gy'azimba ewa essuubi egenda kubeerabiza ennaku gye bayitamu sizoni ewedde we bawonera awatono okusalwako okudda mu kibinja kya wansi.

Expressazam4 350x210

KEFA Kisala agenda Express FC amatidde omutindo gw'abazannyi be gwe baayolesezza nga balemagana ne Azam FC eya Tanzania n'agumya abawagizi nti ttiimu gy'azimba ewa essuubi

Kefa ayongeddeko nti Express gy'azimba lunbabu era egenda kubeerabiza ennaku gye baayitamu sizoni ewedde we baawonera awatono okusalwako okudda mu kibinja kya wansi. 

Mu gw’omukwano ogwazannyiddwa e Wankulukuku ku Ssande, Express ne Azam gwagenze okuggwa nga buli ludda lubala ggoolo emu ku emu.

Daniel Lyanga ye yateebedde Azam FC mu ddakiika ey’e 15 ate  Ruben Matovu n'ateebera Express FC mu kitundu eky’okubiri. 

Kisala mumativu n’omutindo; 

Okukola amaliri ne Azam omutendesi Kisala yagambye nti si kabonero kabi mu mbeera nga bali ku mulimu gwa kuzimba ttiimu egenda okuvuganya mu liigi n’okwewala embeera eyaliwo sizoni ewedde Express FC bwe yawonera awatono okusalwako.