Joe Hart asitudde omutindo

By Musasi wa Bukedde

Abawagizi ba Burnley batandise okutendereza omutendesi Sean Dyche okulabira ewala n’akansa omukwasi wa ggoolo, Joe Hart.

Burnleyjoehart 350x210

Nga gwe mupiira gwe ogwokubiri oguddiring’ana mu miti gya Burnley, teyateebeddwa. Baalemaganye 0-0 ne Southampton ku bugenyi.

Yaguliddwa pawundi obukadde 3.5 era Dyche yagambye nti, “Ono Hart mmulaba nga ggiraasi enkadde ejjudde omwenge oguwooma ennyo.”

Yalemesezza Charlie Austin ne Danny Ings okuteeba enfunda eziwera mu mupiira ttiimu zombi gwe zaatandikiddeko Premier ya sizoni eno.