Engule y'omwaka guno yange - Blick

By Ismail Mulangwa

OLWAWANGUDDE empaka z'omwetooloolo eza ‘FMU Sprint Championship’, ezaabadde ku Festino Cite e Mukono ku Ssande, nnantameggwa w’emmotoka z’empaka owa 2015, Arthur Blick Jr, n’awera nga bw'atagenda kukkiriza muntu yenna kumulemesa kusitukira mu ngule eno.

Abe 350x210

Bwe bayimiridde mu bubonero:

1 Ronald Ssebuguzi 34

2. Christakis Fitidis 33

3. Jas Mangat 30

4. Arthur Blick Jr 29

5. Hassan Alwi 16

“Engule y’eggwanga eya NRC sikyasobola kugiwangula wabula ey’omwetooloolo ekyandi mu ttaano, era ηηenda kulwana okulaba ng'omwaka guno siviiramu awo,” Blick Jr, bwe yaweze.

Ku ngule eno, Blick ali mu kyakuna n’obubonero 29, nga Ronald Ssebuguzi akulembedde ne 34, amusinza obubonero butaano.

Empaka za mirundi esatu ze zibula ku ngule eno.

Abavuzi baakukomawo mu nsiike ku wiikendi ya September 7-9, okulwanira obubonero ku ngule y’eggwanga (NRC), ekulembeddwa Jas Mangat n’obubonero 305.