Owa Real Madrid awaanye Bale

By Musasi wa Bukedde

Omutendesi wa Real Madrid, Julen Lopetegui agambye nti yeewuunya abalowooza nti okugenda kwa Cristiano Ronaldo kkonde ddene eri ttiimu ye.

Realbalecelebrates 350x210

“Nga nnina Gareth Bale, siraba ddibu mu ttiimu olwa Ronaldo,” Lopetegui, eyali omutendesi wa Spain bwe yategeezezza nga beetegekera okwambalagana ne Atletico Madrid mu ‘UEFA Super Cup’.

Yagasseeko nti, “Bale talina ky’atasobola kukola. Akulukuta n’omupiira, akola asisiti, asimula ebisobyo, wa sipiidi, ateeba naye ng’ekisinga byonna kkowe lya maanyi mu nzannya ya ttiimu.”

Bale yava ku katebe n’ateeba Liverpool ggoolo bbiri ku fayinolo ya Champions League mu June.

Real Madrid yawangula ne ggoolo 3-1