Roma esoonye Arsenal omuwuwuttanyi

By Musasi wa Bukedde

OKUGANIRIZA ssente n’okulamuuliriza olutakoma kireetedde Arsenal okusigala n’eddibu mu kitongole kyayo ekiwuwuttanyi.

Sevillanzonzi 350x210

Ttiimu eno etendekebwa Unai Emery, yali yeesibye ku kukansa Omufalansa Steven N’Zonzi kyokka akatale kaatuuka kuggalwawo ku Lwokuna lwa wiiki ewedde nga tekutula.

Roma eya Yitale yeekudde pawundi obukadde 27 era Sevilla eya Spain teyasibyemu kumubaguza.

N’Zonzi, eyaliko mu Stoke City, yali mu ttiimu ya Bufalansa eyawangudde World Cup.