Ramos addizza Klopp omuliro

By Musasi wa Bukedde

KAPITEENI wa Real Madrid kyaddaaki avuddemu omwasi ku by’obuvune Mohamed Salah owa Liverpool bwe yafunira ku fayinolo yaabwe eya Champions League mu May.

Mohamedsalahsergioramoscomposite15hn3o22cqdii16uakzvm90roa 350x210

Yagambye nti omutendesi Jurgen Klopp mukyamu okumulumba nti azannyisa ttima (Ramos) n’agattako nti, “Musajjamukulu ono anoonya byekwaso bya kikwa kimwezinzeeko eky’obutawangula bikopo bya muzinzi.”

“Mmaze ekiseera nga nzannya omupiira ate nga mpangula ebikopo. Ssaagala muntu yeekwasakwasa busongasonga. Nze mbadde mmulemesa okuwangula ebikopo ebirala,” Ramos bwe yacwanye.

Real Madrid yawangula Liverpool (3-1) okutwala ekikopo kya UEFA Champions League omulundi ogwokusatu oguddiring’ana.

Mu nsiike eno, Salah yavaamu ng’afunye obuvune ku kibegabega oluvannyuma lwa Ramos okumusuula n’amugwira.

Leero, Real Madrid ettunka ne Atletico Madrid mu kikopo kya ‘UEFA Super Cup’.