She Cranes ekubye Malawi mu za African Netball Championships e Zambia

By Stephen Mayamba

SHE CRANES ttiimu y’eggwanga ey’okubaka enkya ya leero eyongedde okulaga nga bw'eri emmalirivu okusigaza engule ya Africa bw'ekubye Malawi ku ggoolo 51-46 mu mupiira gwayo ogw’okubiri mu mpaka za African Netball Championships ezibumbujjira e Zambia.

Shecranes03 350x210

Malawi 46 – 51 Uganda

Namibia 54-34 Kenya

Obuwanguzi buno nga bwe bwokubiri mu mpaka zino (yaguddewo na kukuba Zambia eggulo Lwokubiri)  butangaaziza emikisa gya Uganda okuwangula empaka zino nga kwotadde n’okugisobozesa okuyitamu okuzannya mu mpaka z’ensi yonna eza Netball World Cup ezigenda okutegekebwa e Bungereza mu kibuga Liverpool omwaka ogujja singa emalira mu basinze ababiri mu mpaka zino.

Uganda etandikiddewo okulaga nti ebadde ekimye buwanguzi bwewangudde akatundu akasooka ku buna ne ggoolo 15 – 9. Mu k’okubiri Malawi egezezaako wabula era Uganda negaana okupondooka ne kagwa nga Uganda esinga ggoolo satu zokkaku mugatte gwa 25-22. Ak’okuuna kawedde Uganda ereebya ggoolo 38 – 36 olwo ne guggwa nga She Cranes ewangudde 51-46

Enkya Uganda ezannya emipiira ebiri ne Kenya ku makya ku ssaawa 5 n’ogwokubiri ku ssaawa 11 ng’ettunka ne Botswana.