Nnabe abaluseewo mu Real Madrid

By Musasi wa Bukedde

Okusika omuguwa kuzzeemu mu nkambi ya Real Madrid wakati wa kapiteeni Sergio Ramos n’abamu ku bazannyi banne.

Champsleagueramoswithcup 350x210

Entabwe evudde ku Ramos okwewa obuvunaanyizibwa bw’okukubanga peneti, bazannyi banne ze bagamba nti yandizirekedde Gareth Bale, azannya ku Kyoto.

Abamunenya bagamba nti alinga eyeerowoozaako yekka sso nga ogw’okuduumira ttiimu gumumala.

Bannyonnyola nti Bale bw’akuba peneti kimuyamba okwekkiririzaamu n’okwongera ku bungi bwa ggoolo ezireeta okuvuganya okw’amaanyi n’abateebi nga Messi (Barcelona), Griezmann (Atletico Madrid) n’abalala.

Real yakubiddwa Atletico Madrid ggoolo 4-2 ne bagitwalako ekikopo kya ‘UEFA Super Cup’ e Slovenia ku Lwokusatu nga Ramos yateebye ggoolo eyookubiri eya peneti.