Guardiola akolerera Man United

By Musasi wa Bukedde

Omutendesi wa Man City, Pep Guardiola agambye nti tajja kussa mukono okutuusa ng’awanudde ManU ku ntikko ya ttiimu ezisinga erinnya mu Bungereza.

Pepe 350x210

Omutendesi wa Man City, Pep Guardiola agambye nti tajja kussa mukono okutuusa ng’awanudde ManU ku ntikko ya ttiimu ezisinga erinnya mu Bungereza.

Man City yawangula Premier ne Carabao Cup (League Cup) sizoni ewedde kyokka Guardiola agamba nti ekyo kikyali kituuza.

“Tulina baliraanwa baffe abeefuga omupiira okumala emyaka 15 ne 20. Okwo kwe kusoomoozebwa okw’amaanyi kwe nnina,” Guardiola, enzaalwa y’e Spain bwe yategeezezza.

Man City yawangudde Arsenal ggoolo 2-0 mu mupiira gwabwe ogwasoose mu Premier ya sizoni eno ate ku Ssande ekyaza Huddersfield.