Pogba tannakyusa ndowooza ye ku by'okwabulira ManU

By Musasi wa Bukedde

Paul Pogba ayongedde okutunduzza abawagizi ba ManU emitima bwe kitegeezeddwa nti akyasibidde ku kya kugyabulira newankubadde ng’enkolagana ye n’omutendesi Jose Mourinho erongooseemu.

Manupogbahoho 350x210

Paul Pogba ayongedde okutunduzza abawagizi ba ManU emitima bwe kitegeezeddwa nti akyasibidde ku kya kugyabulira newankubadde ng’enkolagana ye n’omutendesi Jose Mourinho erongooseemu.

Pogba ye yabadde kapiteeni era n’ateebera ManU ng’ewangula Leicester mu mupiira ogwagguddewo Premier wiiki ewedde kyokka kigambibwa nti akyakukuta n’abakungu ba Barcelona okumukansa ng’akatale kazzeemu mu January.

Omuwuwuttanyi ono yayambye Bufalansa okuwangula World Cup e Russia omwezi oguwedde kyokka sizoni ewedde yali tamatirwa Mourinho ng’agamba nti omutindo gwe gwaka bwe guzikira.

Yagulwa pawundi obukadde 90 okuva mu Juventus mu 2016.