Guardiola awaanye Aguero

By Musasi wa Bukedde

Sergio ‘Kun’ Aguero yafuuse omuzannyi asoose okuteeba ggoolo essatu mu Premier sizoni eno (2018-19) ku Ssande.

Mancityagueropep 350x210

Yaziteebye Huddersfield nga Man City egitimpula ggoolo 6-1 n’erinnya ku ntikko.

Omutendesi Pep Guardiola, eyali agambibwa nti amatira Gabriel Jesus okusinga Guardiola, yeefukuludde n’amuwaana nti, “Sirabanga ku muteebi atuukiridde nga Aguero.”

“Omwana ono yalongoosebwa mu April kyokka olwadde, kyantwalira akatikitiki kamu kokka okulaba nti azze ku mutindo. Y’omu ku bateebi abasinga okwokya kati mu nsi yonna,” Guardiola bwe yatenderezza omuteebi ono enzaalwa y’e Argentina.

Man City ezzaako kukyalira Wolves ku Lwomukaaga.