Mourinho akoze entondo

By Musasi wa Bukedde

Jose Mourinho, atendeka ManU agaanyi okunenya abazannyi be oluvannyuma lw’okukubwa Brigton (3-2) ku Ssande ng’agamba nti, “Kansirike buli lwe nnenya omuzannyi munnumba nti simwagala.”

Mourinhoattackspogba 350x210

Omuzibizi Eric Bailly ye yasinze okuzannya obubi bwe yakoze ensobi bbiri omwavudde ggoolo ebbiri kyokka Mourinho yagambye abaamawulire nti talina muzannyi gw’anenya kuba buli lw’akikola bakitwala nti tamwagala.

Ye Paul Pogba, eyabadde kapiteeni w’olunaku yakkirizza nti yazannyidde ku mutindo mubi nnyo ogutagya mu ssita eyaakayamba Bufalansa okuwangula World Cup.