Ttiimu ya ddidi tewena

By Ismail Mulangwa

Empaka eziddako ttiimu ya ddigi yaakumalira mu bifo by'okumwanjo

Maximweb 350x210

KAPITEENI wa ttiimu y’eggwanga eya ddigi, Maxime Van Pee agumizza abawagizi nti ttiimu yaabwe yaakweyongera amaanyi mu mpaka ez’omuzinzi eziddako.

Kino kiddiridde Uganda okumalira mu kyokuna mu mpaka z’engule y’Afrika ezaabadde e Lusaka  ekya Zambia ku wiikendi. Uganda yamalidde emabega wa Zambia, Zimbabwe ne South Afrika eyawangudde.

"Omwaka oguwedde twamalira mu kyakutaano era nnina esuubi nti empaka eziddako tujja kumalira mu bifo eby'oku mwanjo ddala kubanga abavuzi baffe balina ttalanta ate n'obumanyirivu bugenda bweyongera," Maxime bwe yategezezza.

Starv Orland 13, banne gwe baakazaako erya 'bbebi', ye yalondeddwa ng'omuvuzi omuto eyasinze okwolesa ekitone mu mpaka zino.

Empaka zeetabiddwaamu amawanga munaana