She Cranes ekyalidde Vision Group

By Moses Kigongo

Cranes, ttiimu y’eggwanga ey’okubaka yakyaddeko ku kitebe kya Vision Group efulumya ne Bukedde, n’eyanjulira akulira kkampuni eno, Robert Kabushenga ekikopo kya Afirika kye yawangulidde e Zambia wiiki ewedde.

Wano 350x210

Bino byabaddewo ku Lwokuna ku kitebe kya Vision Group, She Cranes eyakulembeddwa maneja waayo Jocelyn Uchanda ssaako omuyima waayo Sarah Muwonge Nkonge.

Baayanjudde ekikopo kye baawangudde ne basiima Kabushenga ne kkampuni gy’akulembera olw’okutuusa ensonga zaabwe eri be kikwatako nga bayita mu mawulire.

Baamusabye abeegatteko mu kaweefube w’okunoonya ssente ze beetaaga okusobola okukiikirira eggwanga mu World Cup eneebeera e Liverpool mu Bungereza omwaka ogujja.

Kabushenga yabasuubizza okubakwasizaako okulaba nga ttiimu eno egenda mu ngeri ey’ekitiibwa.

She Cranes yakyaddeko ne mu ofiisi y’omukung’aanya wa Vision Group ow’oku ntikko, Barbra Kaija.

Ttiimu eno yakubye Zimbabwe ku fayinolo y’eza Afrika n’esitukira mu kikopo ssaako okuyitamu okugenda mu World Cup.