Ennyonta y'omusipi Vegas Lubega waakugimalira ku Mutanzania

By Musasi wa Bukedde

EMYAKA giweze ena bukya Joey ‘Vegas’ Lubega, omuggunzi w’ehhuumi, akoma ku munaabo gw’okusitukira mu musipi gw’ensi yonna ogwa 'WBC Inter-Continental Light Heavy'.

Lubeganyilwila 350x210

Lwamukaaga mu UBO World Cruiser weight Title e Lugogo

Joey Vegas Lubega (Ug) ne Karama Nyilawila (Tz).

Ebisale: 20,000/-, 50,000/-, Emeeza 1,500,000/'

Ku mulundi ogwo, Ryno Liebenberg (South Afrika) yamukuba 'tonziriranga' mu laawundi eyookubiri mu kibuga Johannesburg Lubega akomyewo mu miguwa leero (Lwamukaaga) mu kisaawe kya hockey e Lugogo, n’ekiruyi, era agamba nti ennyonta gy'alina waakugimalira ku Mutanzania Karama Nyilawila, nga balwanira omusipi gw’ensi yonna ogwa ‘UBO Cruiser Weight’.

“Nyilawila njagala kumwanguya era sisuubira kumusussa laawundi yaamukaaga, "Lubega bwe yagambye.

Olulwana luno lwakulagibwa layivu ku Urban TV eya Vision Group, efulumya ne Bukedde.

Lubega ajja mu lulwana luno nga wa nnwaana 39 kw'awangudde 23, amaliri emirundi esatu, n’okukubwa emirundi 13.

Nyilawila wa nnwaana 46 awanguddeko 28 ng’akubiddwa 18. Ennwaana endala ezigenda okusookawo kuliko olwa Nicholas Buule ne Edson Muhumuza, Solomon Bogere ne Julius Mukose, ssaako Meddie Ssebyala ne Ramadan Omar.

Mu ngeri y'emu, ttiimu y’eggwanga ey'abatasussa myaka 18 (Junior Bombers) ekomawo leero ku Lwomukaaga okuva mu mpaka z’ensi yonna mu kibuga Budapest ekya Hungary.

Abazannyi basatu; Reagan Musoke (Fly) John Fisher Odoch (L/ Fly) ne Muhamad Bunya Mazida be baakiikiridde Uganda, wabula bonna baawanduddwa Abazungu Sukthet Sarawut, Noa Jezek ne Khasmetov Maksud.