Eza Woodball 5 tezirabisse mu luzannya olwokuna

By Musasi wa Bukedde

MANEJA w’omuzannyo gwa Woodball mu Uganda, John Baptist Kateregga atabuddwa ttiimu 5 bwe zitalabiseeko ku lunaku lwa liigi olwokuna olwo ze zibadde zigenda okuzannya nazo obubonero ne zitwala bwa ku mukeeka.

Ibrahimntumeowandejjecorporate 350x210

Bya GERALD KIKULWE

Ku Lwomukaaga ttiimu za Woodball 12 zaabadde zirina okubbinkana ku kisaawe e Kyambogo mu lunaku Olwokuna olwa Liigi ya sizoni eno wabula MUBS(abaami n’abakyala), Luzira SS (abaami), IUIU (abakyala) ne KIU (abaami) tebaalabiseeko ate ne batawa nsonga lwaki tebaasobadde kulabikako ekitabudde ennyo Maneja n’asuubiza okuziwa ekibonerezo  ekikakali .

Kateregga agamba nti okusinziira ku mateeka agafuga omuzannyo guno, ttiimu yonna nga teesobole kuzannya ku lunaku lwa liigi olwategekebwa, erina okuwandiikira akakiiko ng’ebula ennaku bbiri wabula bw’eremerwa  okukikola mu budde ekangavvulwa.

“Ttiimu zino ettano ngenda kwogera nazo mu bwangu okuzuula ensonga lwaki tebasobodde kuzannya era tulabe n’eky’okubakolera mu bwangu ddala,” Kateregga bwe yategeezezza.

Eno ye sizoni eyokubiri nga Liigi y’omuzannyo gwa Woodball  etegekebwa mu Uganda.