Pemba azzizza Ambrose Byona ow'emmotoka z'empaka engulu

By Nicholas Kalyango

Byona, ye munnayuganda yekka eyali awangudde nnanatameggwa wa Uganda owa 2012, 2013 ne 2016, Jas Mangat.

Ambrose1 350x210

OKUVA 2018 lwe yatandika, omuvuzi w’emmotoka z’empaka, Ambrose Byona amanyiddwa nga ‘Omunyeeto’, abadde talabikangako mu mpaka zonna eziri ku kalenda y’engule y’eggwanga (NRC).

Okusinziira ku nsonda ezeesigika, Byona waakulabikako mu bawagizi be omwezi ogujja mu mpaka za UMOSPOC Kabalega Rally. Waakubeera mu mmotoka ye empya ekika kya Mitsubishi EVO X gye yagula ku Kuku Ranjit wabula nga ku luno tegenda kuba mu langi za Hima Cement ebadde emussaamu ssente.

Emmotoka eno egenda kuba mu langi za Pemba Africa. Ddiiru ya Byona ne Pemba Africa egenda kuba ya myaka ebiri.

yona mu ssanyu oluvannyuma lwempaka ze ayungaByona mu ssanyu oluvannyuma lw'empaka z'e Kayunga.

Byona, ye muvuzi yekka eyali awangudde nnanatameggwa wa Uganda owa 2012, 2013 ne 2016, Jas Mangat. Yamuwangula mu lumu ku lukontana (section) lw’empaka za MOSAC Rally mu November wa 2016.

Engule y’omwaka guno, ekulembeddwa Jas Mangat n’obubonero 305 ng’addiriddwa Ronald Ssebuguzi (290), Susan Muwonge (240) ne Unissan Bakunda mu kyokuna n’obubonero 204.

 emba ku kkono ngali ne yona Pemba (ku kkono) ng'ali ne Byona.