Liigi ya Basketball etuuse ku mutendera w'enyumira

By Musasi wa Bukedde

TTIIMU ya Betway Powers eraze ennyonta y’okuwangula ekikopo kya sizoni eno mu liigi ya Basketball bw’ewunzise enzannya z’ekibinja ng’eri ku ntikko ne wiini 19.

Geoffreysorobetwaypowersmugwagulawoliigi 350x210

Egyazanyiddwa mu Basketball

Pemba Warriors 73-57 Our Saviour

UCU Canons 49-59 Betway Power

Ku Ssande August 26, Betway yamazeeyo ensiike zaayo 22 ez’ekibinja bwe yamezze UCU Canons ku bugoba 59-49 ku kisaawe kya YMCA e Wandegeya ekigifudde ey’ekizo nga buli ttiimu egitya ku mutendera gwa “Play offs” ogutandika ku wiikendi eno.

Guno omutindo Betway Powers gw’eyolesezza sizoni eno gumennyewo likodi ya City Oilers abazze bakulembera sizoni ttaano ez’omuddiringanwa ku mutendera gw’ekibinja ate n’ekikopo ne bamaliriza nga bakyetisse.

Stephen Wundi eyali omuzannyi wa UCU Canons nga kati azannyira Betway Powers yataddewo omutindo omulungi ku Ssande bwe yakoze obubonero 12 n’addirirwa Joseph Ikong (11) ne Geoffrey Soro(10)

TTIIMU NGA BWE ZIKOZE

1. Betway Power 19-3
2. City Oilers 18-4
3. KIU Titans 17-5
4. Pemba Warriors 13-9
5. JKL Dolphins 11-11
6. Ndejje Angels 11-11
7. Sharing Youth 9-13
8. UCU Canons 11-9
9. Our Saviour 7-15
10. KCCA Panthers 6-16
11. UPDF Tomahawks 5-17
12. Charging Rhino 5-17