Ttiimu za Bungereza ziri kattu okusanga abanene mu Champions League

By Musasi wa Bukedde

ManU yandigwa ku Real Madrid,Barcelona, Bayern oba PSG abali mu kisuwa ekisooka

2016realwinchampsleaguebale 350x210

Ebisuwa bwe biyimiridde;

Ekisuwa ekisooka: Real Madrid, Atletico Madrid, Barcelona, Bayern, Man City, Juventus, PSG, Lokomotiv Moscow

 

Ekisuwa ekyokubiri: Dortmund, Porto, ManU, Shakhtar, Benfica, Napoli, Spurs, Roma

Ekisuwa ekyokusatu: Liverpool, Schalke, Lyon, Monaco, Ajax, CSKA Moscow, PSV, Valencia

 

Ekisuwa ekyokuna: Viktoria Plzen, Club Brugge, Galatasaray, Young Boys, Inter Milan, Hoffenheim, Red Star Belgrade, AEK Athens

 

AKALULU k’ebibinja bya Champions League kakwatibwa leero mu kibuga Monaco ekya Bufalansa.

 

Ttiimu za Bungereza ennene ziri bulindaala okulaba nga zifuna ttiimu enjabayaba zeewale obutava mu kibinja.

 

Man City, ManU, Liverpool ne Spurs ze zigenda okukiikirira Bungereza mu mpaka zino kyokka ng’oggyeeko Man City, abasigadde basobola okukwata babbingwa.

 

ManU ne Spurs bayinza okusanga Real Madrid, Monaco, Inter Milan (abali mu kisuwa ekisooka) ssaako Monaco ne Lyon abali mu kyokubiri.

 

Liverpool abaakubirwa ku fayinolo y’empaka zino, bayinza okugwa ku; Real Madrid, Borussia Dortmund, Inter Milan

Wabula ttiimu eziri mu kibinja ekimu tezisobola kwekwata sso nga n’ezo eziva mu ggwanga lye limu nazo tezisobola kusisinkana.

Buli kisuwa kivaamu ttiimu emu okukola ttiimu ennya eziri mu kibinja.