Aba mmotoka beewagira z'e Hoima

By Ismail Mulangwa

Abavuzi ba mmotoka z'empaka 31 bakakasizza okwetaba mu mpaka za 'UMOSPOC Kabalega Rally' ezigenda okubeera e Hoima ku weekendi eno

Ssebugusiweb 350x210

OLUVANNYUMA lw’abavuzi ba mmotoka z’empaka 31 okukakasa okwetaba mu mpaka za UMOSPOC Kabalega Rally wiikendi eno, abavuzi ab’enjawulo batandise okuwera nga bwe bagenda okulabya bannaabwe ennaku.

 

Ronald Ssebuguzi, omu ku bavuganya ku ngule y’eggwanga (NRC), yategeezezza nga bw’akyali ku kigendererwa ky'okusitukira mu ngule eno nti era mwetegefu okufaafaagana n'omuntu yenna aneekiika mu kkubo lye.

 

“Omusomi wa maapu wange, Leon Ssenyange yalambudde amakubo, era yantegeezezza nti tewali we tutasobola kuyita. Tubadde tetukola bulungi e Hoima naye ku luno batwerinde,” Ssebuguzi bwe yagambye. Omwaka oguwedde yamalira mu kyakuna.

 

Ssenyange  yategeezezza nti, " Mu makubo mulimu awaseerera, aweetaagisa okudduka ennyo n’awetaagisa okwegeendereza, naye nze ndi mwetegefu okuyisaawo dereeva wange okutuusa nga tuwangudde empaka.”

Jas Mangat y'akulembedde n'obubonero 305, n'addirirwa Ssebuguzi (290), Susan Muwonge (240), Unissan Bakunda (204) ne Kepher Walubi n'abeeramu kyokutaano ku bubonero 180.