Aston Villa ne Sporting Lisbon zaagala kukansa Terry

By Musasi wa Bukedde

Steve Bruce yamuyise akomewo baddemu olutalo lw'okukomawo mu Premier.

Terry 350x210

Omuzibizi John Terry eyali alangiridde bw’annyuse omupiira, yandikomawo n’adda ku mupiira oluvannyuma lwa Aston Villa okuyita akomewo abazannyire.

Terry, eyali kapiteeni wa Chelsea, ne Sporting Lisbon eya Portugal nayo emutokota wadde nga yagiteereddewo akakwakkulizo.

Pedro Madeira Rodrigues, eyeesimbyewo ku bwapulezidenti ne banne bataano agamba nti ayagala kuleeta Terry aggumize ekisenge.

Omutendesi wa Aston Villa, Steve Bruce yayise Terry ajje baddemu bakole kuba ttiimu ye emwetaaga baddemu olutalo lw’okudda mu Premier.