Akakiiko ka NCS katabukidde abeebikonde

By Musasi wa Bukedde

Akakiiko akaddukanya emizannyo mu ggwanga katadde abakulira ebikonde ku nninga, ku bazannyi ababula buli lwe bagenda okwetaba mu mpaka ez'enjawulo

Ncsweb 350x210

Bya FRED KISEKKA

 

AKAKIIKO akavunaanyizibwa ku mizannyo mu ggwanga aka NCS, katadde abakungu b’ekibiina ekiddukanya ebikonde mu ggwanga ku nninga, bannyonnole ku bakubi b’ebikonde ababulira mu mawanga g’e Bulaaya nga bagenze okwetaba mu mpaka ez’enjawulo.

Kino kiddiridde omuzannyi John Fisher Odoch okubulira mu Hungary ttiimu y’eggwanga ey’abato gye yabadde egenze okwetaba mu mpaka za ‘World Youth Boxing Championships ezaabadde mu kibuga Budapest wakati wa August 21 ne 31.

Amyuka ssaabawandiisi wa NCS ku nsonga z’ekikugu, David  Katende yalagidde UBF okukola  lipoota ng’ennyonnyola  lwaki abakubi badduka buli lwe bagenda mu mpaka.

ohn isher doch ayabulidde mu ungaryJohn Fisher Odoch eyabulidde mu Hungary

 

“Twagala lipoota  kubanga ekikolwa kino kittattana erinnya ly’eggwanga laffe,” Katende bwe yagambye.

Pulezidenti wa UBF, Moses Muhangi, yannyonyode nti baawandiikidde poliisi y’ensi  yonna ku nsonga eno era baakukolagana nayo bakomyewo Odoch ku buwaze.

Abazannyi abalala abazze babula nga bagenze mu mpaka ez’enjawulo kuliko; Nair Bashir ne Reagan Ssimbwa abaabulidde mu mizannyo gya Commonwealth egyabadde mu kibuga Gold Coast ekya Australia mu May, Kasim Ouma eyaddukira mu Amerika mu 1999, Sharif Bogere  (2006), Phillip Adyak, Eddie Akora mu mwaka gwe gumu, Andaman Daku, Martin Mubiru, Sula Segawa, Atanus Mugerwa, Naser Bukenya, Fazil Juma, David Ayit, Geoffery Kakeeto, Muzamir Kakande n’abalala.