Farouk Miya yeegasse mu kutendeka kwa Cranes

By Stephen Mayamba

Farouk Miya ne Kizito Luwagga beegasse ku ttiimu y'eggwanga eya Uganda Cranes mu kutendekebwa e Namboole

Cranes9web 350x210

Lwamukaaga mu z’Afrika

Uganda - Tanzania

Enkambi ya Uganda Cranes yeeyongeddemu ebbugumu abazannyi okuli; Farouk Miya, Kizito Luwagga, Moses Opondo ne Yunus Sentamu,  bwe bagyegasseeko mu kutendekebwa e Namboole ku Lwokusatu.

Cranes eri mu kwetegekera Taifa Stars ey’e Tanzania mu z'okusunsulamu abalyetaba mu mpaka z’Afrika ezaakamalirizo (AFCON) ezigenda okubeera e Cameroon omwaka okujja. Omupiira guno gwa ku Lwamukaaga e Namboole.

 mutendesi wa ranes ebastien esabre owokubiri ku ddyo ngayogera nabazanyni halid ucho asooka ku kkono oses pondo ne assan asswa ku ddyo mu kutendekebwa e amboole ku wokusatu Omutendesi wa Cranes Sebastien Desabre (owookubiri ku ddyo) ng'ayogera n'abazannyi Khalid Aucho (asooka ku kkono) Moses Opondo ne Hassan Wasswa (ku ddyo) mu kutendekebwa e Namboole ku Lwokusatu

 

“ Mpulira bulungi okuba nga nsobodde okutendekebwa ne ttiimu. Bannange bonna ndaba bali mu mbeea nnungi era ssinga Bannayuganda bajja ne batuwagira nga bulijjo, tujja kusobola okuwangula Tanzania,” Miya bwe yagambye

Mu mupiira Cranes gwe yasooka okuzannya, yawangula Cape Varde (1-0), era mu kiseera kino y’ekulembedde ekibinja L n'obubonero 3, ng'eddirirwa Tanzania ne Lesotho abalina akamu, sso nga Cape Verde terinaayo.