UPL ekakasizza liigi ya babinywera etandika nga September 28

By Silvano Kibuuka

Abakulira akakiiko akaddukanya liigi y’omupiire ey’eggwanga ‘Uganda Premier League’ balangiridde nti liigi ya Star Times Premier League 201/19 eggulwawo nga September 28 era nga ttiimu zonna e 16 zaakusindana.

Uplbernardbainaman2bukeddeweb2 350x210

Abakulira akakiiko akaddukanya liigi y’omupiire ey’eggwanga ‘Uganda Premier League’ balangiridde nti liigi ya Star Times Premier League 201/19 eggulwawo nga September 28 era nga ttiimu zonna e 16 zaakusindana.

Wabula balangiridde era nti omupiira oguyitibwa ‘Super Cup’ ogusoomooza liigi nga guzannyibwa ttiimu eyawangula liigi y’eyatwala ekya Uganda Cup mwe zisisinkanira okujja abalabi ekifu ku maaso gwa September 22 ku kisaawe ekijja okulangirirwa.

Vipers SC egenda kukwatagana ne KCCA FC abalina ekikopo kino.

Babadde Namboole mu lukiiko lwa bannamawulire.

Akulira emirimu, Bernard Bainaman agambye nti ensengeka z’enzannya zifuluma wiiki ejja kubanga waliwo ttiimu ezitanaba kutuukiriza bisaanyizo ku bisaawe.

Wabula agambye nti bagenda kusisinkana amakiraabu amangu ddala bagannyonyole ku ngeri gye bagenda okutemaatema ensimbi ezaabaweereddwa aba Star Times okuddukanya liigi okuli eza baddiifiri n’ebirala.