Star Times erambuludde bw'egenda okuddukanya Super League

By Silvano Kibuuka

Abatadde ssente mu mupiira gwa Uganda aba Star Times batangazizza ku nkola yaabwe mwe bagenda okuddukanyiza emirimu nga tebakontana na bitongole bya mawulire biri kati mu nsiike.

Siriiko 350x210

Omumyuka wa Pulezidenti wa Stat Times era akulira obwa kitunzi Aldrine Nsubuga SNR ategeezezza bannamawulire nti baaguse ku FUFA ebintu bibiri okuli erinnya lya liigi n’olw’okufulumya amawulire n’ebifaananyi naddala ebya TV n’eku mikutu gy’amasimu.

“Twaguze ebintu byombi okuva mu FUFA ku ddoola za Amerika 7.24 (eza Uganda obuwumbi 28),” Nsubuga bw’ategeezezza.

Agambye nti ebitongole by’amawulire ebitavuganya nayo (ebifulumya amawulire agatali gaakusasulira okugeza ebitatunda dikooda) bijja kukkirizibwa okufulumya ebifaananyi nga bisoose kwewandiisa mu Star Times n’okusaba.

Nsubuga era atangazizza nti bbo tebannasasulira makiraabu ga Uganda ng’abasinga bwe balowooza.

“Kiraabu za ddembe okwefunira abaziteekamu ensimbi kasita tebakontana ne bye twaguze,” bwe yayongeddeko.

Akakasizza nti Star Times yaakulaga emipiira 100 egya liigi nga bataddewo n’omukutu omupya ogwa ‘Sanyuka’ nga gwakulabwa mu mawanga gonna 38 agalimu empeereza ya Star Times mu nsi yonna.

Ye omukungu wa FUFA Rogers Byamukama ategeezezza nti abantu baandisiimye ku nkulakulana eno kubanga egenda kwongera okutumbula omupiira gwa Uganda.

Aba Uganda Premier League bakakasizza nti eggulwawo nga September 28 nga ttiimu zonna 16 zaakubeera mu nsiike.