Eya Big League etunuzza URA FC ebikalu

By Musasi wa Bukedde

TTIIMU ya Big League Wakiso Giants FC etunuzza URA FC mu liigi ya babinywera ebikalu bw’egikubyemu ebituli bya ggoolo 2-1 mu gw’omukwano.

Bengo 350x210

Bya GERALD KIKULWE

Wakiso Giants 2-1 URA FC

Ku lwokubiri omutendesi wa URA FC Sam Ssimbwa yatutte ttiimu ye mu kisaawe kya Wakisha Resource Centre okwegezaamu nga beetegekera Liigi ya Star times Uganda Premier League etandika nga September 28 wabula omuzannyi wa Wakiso Giants FC Abdul Karim Kasule teyabalabyemu ka buntu bwe yabakubye ggoolo bbiri omuntu omu n’oluvannyuma Paul Mbowa n’akubagizaayo URA ggoolo emu.

Mathius Kisitu maneja wa Wakiso agamba nti baagala kuzannya emipiira egiwerako okwongera okwenyweza okulaba nga sizoni ebasanga bali fiiti ekimala.

 Wakiso Giants kati yaakazannya emipiira 8 mu kwetegekera sizoni ya 2018/19 ng’ewanguddeko 4, ddulo 2  ne bagikuba 2.