Zidane asonze ku bazannyi b'anaagula ng'asikidde Mourinho

By Musasi wa Bukedde

Ayagala Toni Kroos, Thiago Alcantara, Edinson Cavani,James Rodriguez.

2017realzidanetrophy 350x210

Zinedine Zidane eyali omutendesi wa Real Madrid alangiridde bw’ayagala okudda mu butendesi.

Mu kiseera kino, ManU eri ku muyiggo gwa mutendesi ayinza okusikira Jose Mourinho singa anaalemwa okukola obulungi sizoni eno.

Zidane, y’asinze okusongebwamu olunwe ku bayinza okusikira Mourinho era ensonda zigamba nti mwetegefu okutendeka ManU.

Kigambibwa nti asonze olunwe mu bazannyi  bana okuli; Toni Kroos (Real Madrid), Thiago Alcantara (Bayern), James Rodriguez (Bayern) ne Edinson Cavani (PSG) b’ayagala okuleeta baggumize ttiimu.

Mu mipiira ena egyakazannyibwa, Mourinho awanguddeko ebiri gyokka ekimutadde ku puleesa nti essaawa yonna yandikwatibwa ku nkoona.

ManU eri mu kya 10 ku bubonero mukaaga mu mipiira ena nga ku wiikendi eno yaakukyalira Watford mu Premier.