Serena Williams alidde obuwuka ku fayinolo y'empaka za ttena eza US Open

By Musasi wa Bukedde

Serena Williams ayombye olw'okumusaliriza ku fayinolo ya US Open.

Williams 350x210

Olutalo lwa Serena Williams akyagenda mu maaso n’okukukkulumira abakulira omuzannyi gwa ttena olwa ye kye yayise obusosoze.

Omumerika Serena yakubiddwa Omujapan Naomi Osaka ku bugoba 6-2, 6-4 ku fayinolo ya US Open kyokka empaka zino zaggweeredde mu kuyomba.

Serena yayise umpire (omu ku baalamudde fayinolo), Carlos Ramos omubbi ng’amulumiriza okumusaliriza.

Entabwe yavudde ku Ramos kulumiriza Serena nti omutendesi we Patrick Mouratoglou yabadde amubbira notisi ng’azannya, ekikontana n’amateeka ga ttena era n’awa Osaka akabonero.  

 erena illiams yasonze olunwe mu ddiifiri nga munyiivu Serena Williams yasonze olunwe mu ddiifiri nga munyiivu.

 

Ekyaddiridde ye Serena okusonga olunwe mu ddiifiri ng’amubuuza lwaki amusaliriza.

Yalumirizza n’okumusosola ng’agamba nti omuzannyo gwa ttena gutiitiibya nnyo abasajja okusinga abakazi.

Yagambye nti abasajja bangi bakola ebintu ebikontana n’amateeka kyokka ne batabonerezebwa kyokka omukazi lw’akikoze ne bagafuula omusango.

Oluvannyuma lw’okukubwa, Serena yazze mu mbeera n’ayozaayoza Osaka olw’obuwanguzi.

Osaka yawangudde engule ya US Open omulundi ogusoose mu byafaayo.